Numbers 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjangu nno obavumirire, kubanga bampitiridde amaanyi, mpozzi lwe nnaasobola okubakuba ne mbagoba mu nsi yange. Mmanyi nti gw'owa omukisa abeera aguwereddwa, gw'ovumirira abeera avumiriddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano: kubanga bannyinze amaanyi: mpozzi ndiwangula, tubatte, mbagobe mu nsi: kubanga mmanyi nga gw'osabira ggwe omukisa aweebwa omukisa, ne gw'okolimira akolimirwa.