Numbers 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu n'abagamba nti: “Musule wano; nzija kubabuulira kyonna Omukama ky'anaaba aŋŋambye.” Abakungu ba Mowabu ne basigala ne Balaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Musule wano ekiro kino, nange enkya nnabaddiza ebigambo Mukama by'anaŋŋamba.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'abagamba nti: “Musule wano ekiro kino. Enkya nja kubaddiza obubaka, okusinziira ku ekyo Mukama ky'anaaba aŋŋambye.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Musule wano ekiro kino, nange ndibaddiza ebigambo nga Mukama bw'anaŋŋamba: abakulu ba Mowaabu ne babeera ewa Balamu.