Numbers 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani asobola okubala Yakobo omungi ng'enfuufu? Ani asobola okubala Yisirayeli omungi ng'ekire? Mpa nfe ng'abatuukirivu bwe bafa, n'eyange entuuko efaanane n'eyaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri? Leka nfe okufa okw’omutuukirivu, n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ayinza okubala abaana ba Yakobo abalinga enfuufu? Oba okubala kitundu ekyokuna ekya Isiraeri? Ka nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N'enkomerero yange ebe ng'eyiye!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abazzukulu ba Yakobo, bangi nnyo ng'enfuufu. Ayinza okubabala ye ani? Nga kizibu n'okubalako wadde ekyokuna ekimu eky'Abayisirayeli abo! Singa nnyini obulamu bwange buggwaako nga ndi muntu wa Ddunda! Singa n'enkomerero yange eba ng'ey'omutuukirivu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, Oba okubala ekitundu eky'okuna ekya Isiraeri? Nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N’enkomerero yange ey'oluvannyuma ebe ng'eyiye!