Numbers 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Kiki ky'onkoze? Nakuyita kuvumirira balabe bange, ate wuuno ggwe obasabira busabizi mukisa!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki n'agamba Balamu nti, “Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balaki n'agamba Balamu nti: “Biki bino by'onkoledde? Nakuleese okolimire abalabe bange, naye ate ggwe ky'okoze, obasabidde mukisa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balaki n'agamba Balamu nti Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.