Numbers 23:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Olwo nneme kwogera Omukama ky'antadde mu kamwa kange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agamba Balaki nti, “Tekiŋŋwanira kwogera ekyo Mukama ky'aŋŋambye okwogera?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'addamu nti: “Nandiremye okwogera ekyo kyokka Mukama ky'ampadde okwogera?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'agamba nti Tekiŋŋwanira kwekuuma kwogera ekyo Mukama kyateeka kamwa kange?