Numbers 23:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaki n'agamba Balaamu nti: “Jjangu tugende mu kifo ekirala, gy'onoosinziira okubalaba, naye ojja kubalabako kitundu, si bonna; eyo gy'onooyima omunvumirire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate Balaki n'amugamba nti, “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balaki n'amugamba nti Jjangu nange, nkwegayiridde, mu kifo ekirala, w’oyinza okuyima okubalengera; onoolaba ekitundu kyabwe eky’enkomerero kyokka, n'otolaba bonna: n’oyima awo okubakolimira.