Numbers 23:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano ku bitambiro byo ebyokye, nze nga bwe mmusisinkana wali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Balaki nti Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze nga bwe nnaasisinkana ne Mukama eyo.