Numbers 23:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'asisinkana Balaamu, n'amussa ekigambo kye mu kamwa, n'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki omugambe bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'amutegeeza eby'okwogera n'alyoka amugamba nti, “Ddayo eri Balaki oyogere bw'otyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'ateeka ekigambo mu kamwa ke, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'onooyogera bw'otyo.