Numbers 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addayo, n'amusanga ng'ayimiridde awo ku bitambiro bye ebyokye wamu n'abakungu ab'omu Mowabu. Balaki n'amugamba nti: “Omukama yayogedde ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “ Mukama Katonda agambye ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'akomawo eri Balaki we yali ayimiridde, awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze ba Mowaabu. Balaki n'abuuza Balamu nti, “Mukama agambye ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addayo, n'asanga Balaki ng'akyayimiridde okumpi n'ekiweebwayo kye ekyokebwa, nga n'abakungu ba Mowaabu bali wamu naye. Balaki n'abuuza Balamu nti: “Mukama agambye ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja gy'ali, era, laba, yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, n'abakulu ba Mowaabu wamu naye. Balaki n'amugamba nti Mukama ayogedde ki?