Numbers 23:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda si muntu nti alimba, si mwana wa muntu nti akyusa ebirowoozo. Ayogera, mbu ate n'atakola? Agamba, mbu ate n'atatuukiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu okukyusa ky'ayogedde: Ye ky'asuubiza akikola, Ky'ayogera akituukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Katonda talimba, naye abantu balimba. Katonda takyuka, naye abantu bakyuka. Ye ky'asuubiza akikola, ky'ayogera akituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n'okukola talikikola? Oba agambye, n'okutuusa talikituusa?