Numbers 23:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yakobo temulengerwamu bubi; mu Yisirayeli temulabikamu nnaku. Omukama Katonda we ali naye, mu ye bakuba emizira gya kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo, tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri. Mukama Katonda waabwe ali nabo; eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogera boogera nga bw'ali Kabaka waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Talabye kibi ku ba Yakobo, wadde ekikyamu ku Bayisirayeli. Mukama Katonda waabwe ali nabo. Baatula bw'ali Kabaka waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogerera waggulu okwa kabaka kuli mu bo.