Numbers 23:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabo abantu basituse ng'empologoma enkazi, bayimuse ng'empologoma ensajja; tegalamira wabula ng'emaze okulya omuyiggo, n'okunywa omusaayi gwa by'eba esse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu basituka ng’empologoma enkazi, beezuukusa ng’empologoma ensajja etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Teriwummula, okutuusa nga limaze okutaagulataagula n'okulya omuyiggo gwalyo, Era n'okunywa omusaayi gwabo abattiddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli lye ggwanga eritaamuuka ng'empologoma enkazi, oba ensajja etebwama kukkalira, okutuusa lw'etuga ky'eyigga, n'enywa omusaayi gw'ekyo ekittiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abantu bagolokoka ng'empologoma enkazi, Era beeyimusa ng'empologoma ennume: Taagalamire okutuusa lw'anaalya ku muyiggo, N'anywa omusaayi gw'abo abattiddwa.