Numbers 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Balaamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano ku bitone byo, nze ŋŋendeko ebbali, oboolyawo Omukama anansisinkana; ky'anaaba aŋŋambye, nzija kukikubuulira.” N'alaga ku kasozi akeereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira awali ekiweebwayo ekyokebwa ky'owaayo, nange ŋŋende; mpozzi Mukama anajja okunsisinkana; era buli ky'anaŋŋamba kye nnaakubuulira. N'agenda yekka ku ntikko y'olusozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'alyoka agamba Balaki nti: “Yimirira okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende ndabe oba nga Mukama anajja okunsisinkana. Era buli ky'anandaga, nnaakikutegeeza.” N'ayambuka yekka ku ntikko y'akasozi, awataali bimera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'agamba Balaki nti Yimirira awali ekyokebwa kw'owaayo nange naagenda; mpozzi Mukama anajja okusisinkana nange: era buli ky'anandaga naakikubuulira. N'agenda ku lusozi aweeru.