Numbers 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'amusisinkana; Balaamu n'amugamba nti: “Ntegese emyaliiro musanvu, ku buli gumu ntambiriddeko ente ennume n'endiga ennume.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'asisinkana ne Balamu. Balamu n'amugamba nti, “Ntegese ebyoto omusanvu, era mpaddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'amusisinkana. Balamu n'agamba Katonda nti: “Ntegese alutaari musanvu, era ku buli emu, ne ntambirirako ente ennume emu n'endiga ennume emu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'asisinkana ne Balamu: n’amugamba nti Ntegese ebyoto omusanvu, era mpeereddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.