Numbers 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'assa ekigambo mu kamwa ke, n'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki omugambe bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ategeeza Balamu by'anaayogera, n'amugamba nti, “ Kati ddayo eri Balaki, oyogera bw'otyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'otyo bw'onooyogera.