Numbers 23:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addayo n'amusanga ng'ayimiridde awo ku bitone bye wamu n'abakungu ab'omu Mowabu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addayo eri Balaki n'amusanga ng'ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze bonna Abamowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Balamu n'addayo, n'asanga Balaki ng'ayimiridde okumpi n'ekitambiro ky'awaddeyo ekyokebwa, ng'ali wamu n'abakungu ba Mowaabu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addayo eri ye, era yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ye n'abakulu bonna aba Mowaabu.