Numbers 23:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu n'ayogera ekitontome kye nti: “Balaki yandeeta okuva e Arami kabaka w'Abamowabu yanzigya mu nsozi z'ebuvanjuba. ‘Jjangu,’ bwe yagamba, ‘okolimire Yakobo; jjangu ovumirire Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’alagula nti, “Balaki ye yanzigya mu Alamu, kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba. N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo; jjangu oboole Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balaki, kabaka wa Mowaabu, Yanzija mu Alamu, mu nsozi z'ebuvanjuba N'aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, Jjangu osoomoze Abaisiraeri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Balaki Kabaka wa Mowaabu, yanzigya mu Aramu, mu nsozi z'ebuvanjuba, n'aŋŋamba nti: ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, jjangu ovumirire Abayisirayeli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balaki yanziya mu Alamu, Kabaka wa Mowaabu yanziya mu nsozi ez'Ebuvanjuba: Jjangu okolimirire Yakobo, Era jjangu osoomoze Isiraeri.