Numbers 23:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmulengera nga nnyima ku njazi ez'oku ntikko; mmulaba nga nnyima ku nsozi. Ndaba abantu abaawule, abateebalira mu baamawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi mbalengera nga nsinziira ku nsozi. Ndaba abantu abeeyawuddeko abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbalabira we ndi ku ntikko z'enjazi, Mbalengerera ku lusozi. Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Laba, be bantu ababeera bokka, So tebalibalibwa mu mawanga.