Numbers 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu bwe yalaba ng'Omukama asiimye okuwa Yisirayeli omukisa, teyagenda ku ndagu nga bw'abadde akola, wabula yakyuka bukyusi n'atunuulira eddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, kumala kwebuuza nga bwe yakola okusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu bwe yamanya nga Mukama ayagala okuwa Abayisirayeli omukisa, n'atagenda kumala kwebuuza nga bwe yakola mu kusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola.