Numbers 24:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa Balaki ne bweserera Balaamu, engalo n'azikubamu, n'agamba nti: “Nakuyita kuvumirira balabe bange, laba wuuno guno gwa kusatu ng'obawa mukisa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo. Balaki n'agamba Balamu nti, “Nakuyita okukolimira abalabe bange, ate ggwe obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Balaki n'asunguwalira Balamu, ne yeecwacwana, n'agamba Balamu nti: “Nakuyita kukolimira balabe bange, ate ggwe kaakano obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.