Numbers 24:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati vva wano mangu odde ewammwe! Nali nteesezza okukufuula ow'ekitiibwa, naye Omukama akusubizza ebitiibwa ebyali bikutegekeddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nkusuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizza okuba n'ekitiibwa ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nsuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizizza okukuzibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa.