Numbers 24:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Balaki ne bw'anampa olubiri lwe olujjudde ffeeza ne zaabu, sisobola kukola kintu kyonna, kirungi oba kibi, ne nsukka ku ky'Omukama ky'aba alagidde, nteekwa kwogera byokka Omukama by'aba aŋŋambye?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bwewalimpadde ennyumba yo ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, sandivudde ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nsinziira mu magezi gange nze. Mukama kye yaŋŋambye kye nkoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Balaki ne bw'ampa olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama, ne nkola ekyange ku bwange, ka kibe kirungi oba ekibi,’ era nti ‘Nja kwogera ekyo kyokka Mukama ky'anaagamba?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera?

Recommended Reading