Numbers 24:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nzuuno nzirayo eri abantu bange, naye ka nkubuulire abantu bano kye bajja okukola abantu bo gye bujja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda, jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma.