Numbers 24:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okulanga kw'oyo awulira ebigambo bya Katonda, amanyi eby'oyo Ali Waggulu Ddala atunuulidde Omuyinza wa buli kantu by'amwolese, avunnama, n'amaaso ge agazibuse:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo awulira ebigambo bya Katonda ayogera. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula n'ayolesebwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, amanya amagezi g'Atenkanika, era eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula: