Numbers 24:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmulaba, naye si kaakati; mmuwulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eyambuka okuva mu Yakobo, ddamula asituka mu Yisirayeli; alibetenta obwenyi bwa Mowabu n'obuwanga bwa bazzukulu ba Seti bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Mu Yakobo muliva emmunyeenye, N'omuggo ogw'obwakabaka guliva mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulisaanyizaawo ddala abaana bonna aba Seezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe ntunula, mbalaba, naye si nga bwe bali kati. Mbatunuulira naye nga bandi wala. Kabaka ali ng'emmunyeenye alisibuka mu ba Yakobo bano Ye, ggwe muggo ogw'obwakabaka, ogulisibuka mu Bayisirayeli. Alikuba abakulembeze ba Mowaabu, alisaanyaawo aba Seeti bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Muliva emmunyeenye mu Yakobo, N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano.