Numbers 24:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Edomu aliwangulwa, ne Seyiri, omulabe we, ajja kuwangulibwa; ye Yisirayeli alyeyongera maanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Edomu aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri alikola eby'obuzira, Aliwangula Edomu ne Seyiri abaali abalabe be N'atuula mu butaka bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Aliwangula abalabe be mu Edomu, ne yeefuga ensi yaabwe Seyiri, nga yo Yisirayeli yeeyongera kuba ya maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Edomu aliba butaka, Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'obuzira.