Numbers 24:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliva mu Yakobo n'azikiriza abaawonawo mu kibuga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu Yakobo muliva omufuzi, Alisaanyawo abalifikkawo mu kibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo asibuka mu ba Yakobo alifuga, era alisaanyaawo abaliba basigaddewo mu kibuga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga, Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.