Numbers 24:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasitula amaaso, n'alaba Yisirayeli asiisidde, buli kika awaakyo, omwoyo gwa Katonda ne gumukkako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe biddiriraŋŋana. Omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yayimusa amaaso, n'alaba Abayisirayeli nga basiisidde ng'ebika byabwe bwe biddiriŋŋana. Mwoyo wa Mukama n'ajja ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.