Numbers 24:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu bwe yalaba Amaleki, n'ayogera ekitontome kye nti: “Amaleki ye yasooka mu mawanga, kyokka naye oluvannyuma wa kuzikirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Balamu N'atunuulira Amaleki n'ayogera obunnabbi buno nti, “Okusooka Amaleki yali asinga amawanga gonna amaanyi, Naye ku nkomerero alisaanyizibwawo ddala;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Balamu bwe yatunuulira Abamaleki, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Ery'Abamaleki lye lyali ebbereberye mu mawanga, naye ku nkomerero, lya kuzikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.