Numbers 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye, Kayini, ekisulo kyo kirizikirizibwa; mu bbanga ttono Assuri alikutwala mu busibe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abakeeni mulinyagibwa, Abasuuli balibawamba ne babatwala nga muli basibe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Abakeeni mulizikirizibwa, Abassiriya bwe balibatwala nga muli basibe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Kayini alinyagibwa, Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe.