Numbers 24:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ayogera ekitontome kye nti: “O! Ani aliba omulamu Katonda lw'alikola kino?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Balamu n'ayogera ebigambo eby'obunnabbi nti, “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balamu era n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino?