Numbers 24:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balaamu n'asituka n'addayo ewaabwe; ne Balaki n'akwata agage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki naye n'addayo ewuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki n'akwata amakubo ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo mu kifo kye: ne Balaki n'addayo.