Numbers 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayogera ekitontome kye nti: “Okulanga kwa Balaamu mutabani wa Bewori, okulanga kw'omusajja ow'eriiso ejjogi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alagula nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja alaba obulungi ayogera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Bino bye bigambo bya Balamu mutabani wa Beyori, era bye bigambo by'omusajja alaba obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera: