Numbers 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okulanga kw'oyo awulira ebigambo bya Katonda, atunuulidde Omuyinza wa buli kantu by'amwolese, avunnama, n'amaaso ge agazibuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna, eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Ng'atunula n'alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n’amaaso ge nga gatunula: