Numbers 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yamuggyayo mu Misiri, amutaasa n'amayembe ng'ag'embogo. Alikavvula amawanga agamuliko obulabe, amagumba gaabwe n'agabwebwena, n'abalasa n'obusaale bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko. Basaanyaawo amawanga g’abalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa n’obusaale bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda eyabaggya mu Misiri; Abalwanirira n'amaanyi ng'embogo. Basaanyizaawo ddala abalabe baabwe, Era bamenyeramenyera ddala amagumba gaabwe, Bazikiriza n'obusaale bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'embogo bwe yeesiga amayembe gaayo, nabo bwe beesiga Katonda abaggye mu Misiri. Balisaanyaawo amawanga g'abalabe baabwe, bamenyeemenye amagumba gaabwe, babafumise obusaale bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda amuggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. Aliriira ddala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gaabwe, N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe.