Numbers 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abwamye, yeebase ng'empologoma ensajja, ng'empologoma enkazi, anaamwaŋŋanga okumuzuukusa ani? Akuwa omukisa naye gumuweebwe; akuvumirira, naye avumirirwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Nga yeebase teri agyaŋŋanga okugizuukusa. Aweebwenga omukisa buli anaasabiranga Isiraeri omukisa, Era akolimirwenga buli anaakolimiranga Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli babwama ne beebaka ng'empologoma ey'amaanyi. Ani aguma okubazuukusa? Buli abasabira omukisa, naye aguweebwenga. Buli abakolimira, naye akolimirwenga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula? Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.