Numbers 25:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Finekasi mutabani wa Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, aggye obusungu bwange ku Bayisirayeli, kubanga alaze nti alumirwa ekitiibwa kyange mu makkati gaabwe nga nze kennyini bwe nkirumirwa. Lwa kukirumirwa bwe ntyo kyennava sibasaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Olw'ekyo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, ky'akoze, akkakanyizza ekiruyi kyange ne sizikiriza baana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olw'ekyo Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, ky'akoze, ndekedde awo okusunguwalira Abayisirayeli. Yagaanye okubaako b'agumiikiriza mu bo, okusinza omulala yenna atali Nze, kyenvudde sibazikiriza mu busungu bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooai kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange.