Numbers 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ne bazzukulu be endagaano y'obwakabona obw'olubeerera eneebanga yaabwe, kubanga yatakabanira ekitiibwa kya Katonda we, n'addaabiriza ku lw'Abayisirayeli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era eneebanga endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo, eri ye n'ezadde lye eririmuddirira, kubanga yakkakkanya ekiruyi kyange n'atangirira abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ye n'ezzadde lye eririmuddirira, babenga bakabona olubeerera, kubanga teyagumiikirizza banvuganya Nze Katonda we, bw'atyo n'afunira Abayisirayeli ekisonyiwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri.