Numbers 25:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja Omuyisirayeli eyattibwa awamu n'Omumidiyaani yali ayitibwa Zimuri, mutabani wa Salu, nga mukulu wa nnyumba y'Abasimewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omusajja Omuisiraeri eyattirwa, awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye yali Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'omu kika kya Simyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja Omuyisirayeli eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani yali Zimuri, mutabani wa Saalu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'ab'Ekika kya Simyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni.