Numbers 25:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omukazi Omumidiyaani eyattibwa yali ayitibwa Kozubi, muwala wa Zuru omukulu w'ennyumba mu Bamidiyaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye yali Kozebi muwala wa Zuuli; eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu bika bya Bamidiyaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi Omumidiyaani eyattibwa, yali Kozibi muwala wa Zuuri, eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu Bamidiyaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani.