Numbers 25:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga nabo beeyisizza ng'abalabe bammwe, ne babasuula mu nkwe zaabwe n'ensonga za Pewori era n'ezo eza Kozubi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu Omumidiyaani, eyattibwa ku lunaku olw'ekibonerezo lwe kyajja olw'ensonga za Pewori.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga balabe bammwe. Baabaasalira enkwe ne babasenderasendera e Pyoli, ne musobya; n'olwa Kozebi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu wa Midiyaani, eyattirwa ku lunaku lwa kawumpuli e Pyoli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga balabe bammwe. Baabasalira enkwe, ne babasenderasendera e Pewori. Era balabe bammwe, olwa Kozibi muwala w'omufuzi Omumidiyaani. Kozibi oyo, mwannyinaabwe, ye yattibwa mu kiseera kya kawumpuli, olw'ebyo ebyagwawo e Pewori.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli.