Numbers 25:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawala ne babayita bagende ku bitambiro bya balubaale baabwe. Abantu ne balya, ne basinza balubaale baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamowaabu baayitanga aba Isiraeri okugenda ku mbaga ze bakoleranga ba katonda babwe; ne balya era ne bavunamira ba katonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi abo bwe baakolanga embaga nga batambirira balubaale baabwe, baayitanga Abayisirayeli. Abayisirayeli ne beetaba mu kulya, era ne bavuunamira balubaale abo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe.