Numbers 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Abalamuzi ba Yisirayeli nti: “Buli omu atte mu bantu be abo abeegasse ku Baali ow'e Pewori.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti, “Buli muntu atte abasajja be abasinzizza Baali ow'e Pyoli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba abakungu b'Abayisirayeli nti: “Buli omu ku mmwe atte basajja be abaasinzizza Baali ow'e Pewori.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte buli muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli.