Numbers 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo mu maaso ga Musa, nga n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli balaba, nga bakyali mu kukungubaga awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano, omu ku Bayisirayeli n'ayingiza mu maka ge omukazi Omumidiyaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kaseera ako, omu ku Baisiraeri n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abaisiraeri bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako, omu ku Bayisirayeli n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abayisirayeli bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n’aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey'okusisinkanirangamu.