Numbers 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Finekasi mutabani wa Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, bwe yakiraba, n'ava mu kibiina, n'abaka effumu mu mukono gwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, bwe yakiraba n'agolokoka n'ava wakati mu kibiina, n'akwata effumu lye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, bwe yalaba ekyo, n'asituka n'ava mu kibiina ky'abantu, n'akwata effumu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe;