Numbers 26:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Kora, n'abagoberezi bangi ne bafa omuliro lwe gwayokya abasajja ebikumi ebibiri mu ataano; ne bafuuka kyakulabirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettaka ne lyasama ne libamira. Koola n'ekibiina ekyo bwe batyo bwe baafa mu biro ebyo, omuliro bwe gwayokya abasajja bibiri mu ataano (250), ne bafuuka akabonero akalabula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Koora, bwe kityo ekibinja ekyo ne kifa, omuliro lwe gwazikiriza abasajja ebikumi ebibiri mu ataano, ne bafuuka akabonero akalabula abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira wamu ne Koola, ekibiina ekyo bwe kyafa; mu biro ebyo omuliro bwe gwayokya abasajja ebikumi bibiri mu ataano, ne bafuuka kabonero.