Numbers 26:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe: mu Namweli, ab'essiga ly'Abanamweli; mu Yamini, ab'essiga ly'Abayamini; mu Yakini, ab'essiga ly'Abayakini;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri; abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini; abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kika kya Simyoni mwe muva enda zino: enda ey'Abanemweri okuva mu Nemweri, enda ey'Abayamini okuva mu Yamini, enda ey'Abayakini okuva mu Yakini:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Simyoni kyalimu Amasiga: erya Nemweli, n'erya Yamini, n'erya Yakini;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Nemweri, enda eya Banemweri: okuva ku Yamini, enda eya Bayamini: okuva ku Yakini, enda eya Bayakini: