Numbers 26:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli mu nnyumba za bajjajjaabwe, okuva ku w'emyaka amakumi abiri n'okweyongerayo, bonna mu Yisirayeli abasobola okutabaala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mubale Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala. Mubabale nga mugoberera ennyumba za bajjajjaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.