Numbers 26:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yissakari mu masiga gaabwe: mu Tola, ab'essiga ly'Abatola; mu Puva, ab'essiga ly'Abapuva;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu lunnyiriri lwa Isakaali mwe muva enda zino: enda ey'Abatola abava mu Tola, enda ey'Abapuva abava mu Puva.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Yissakaari kyalimu Amasiga: erya Toola, n'erya Puva;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Tola, enda eya Batola: okuva ku Puva, enda eya Bapuva: