Numbers 26:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ago ge masiga mu Yissakari. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo z'enda za baana ba Isakaali, n'abo abaabalibwa ku bo baali, emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu (64,300).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yissakaari, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda za Isakaali ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu.